
Kigendererwa ki eky’okubeera omulamu? - Emboozi y’omuntu atakkiririza mu Katonda
ترجمة: اللغة: اللوغندية. الدولة: أوغندا. ما هو الهدف من الحياة؟ قصة ملحد Kigendererwa ki eky’okubeera omulamu? Emboozi y’omuntu atakkiririza mu Katonda Emboozi yange yatandikira mu mwaka gwange ogusooka mu yunivasite. Ebizibu byali bingi mu mwaka ogwo. Bazadde bange baayawukana, nnafuna akabenje k’emmotoka era omu ku mikwano gyange n’afa. Kale ne nneebuuza lwaki ndi mu nsi? Kigendererwa ki eky’okubeera omulamu? Nnatandika okubuusabuusa...
Kigendererwa ki eky’okubeera omulamu? - Emboozi y’omuntu atakkiririza mu Katonda
ترجمة:
اللغة: اللوغندية.
الدولة: أوغندا.
ما هو الهدف من الحياة؟
قصة ملحد
Kigendererwa ki eky’okubeera omulamu?
Emboozi y’omuntu atakkiririza mu Katonda
Emboozi yange yatandikira mu mwaka gwange ogusooka mu yunivasite. Ebizibu byali bingi mu mwaka ogwo. Bazadde bange baayawukana, nnafuna akabenje k’emmotoka era omu ku mikwano gyange n’afa. Kale ne nneebuuza lwaki ndi mu nsi? Kigendererwa ki eky’okubeera omulamu? Nnatandika okubuusabuusa ekigendererwa ky’okubeera omulamu. Okuva bwe kiri nti ndi Mukristaayo, natandika okunoonyereza; Bwentyo nagenda mu nkambi y’ekkanisa ne nsanga buli omu ng’ayimba ebigambo bye nnali simanyi. Bwentyo ne mbabuuza ebibuuzo ebimu ebyandeetera okukoowa.
Tebaabikkula Bayibuli mu kunziramu. Wabula buli omu ku bo yampa endowooza ye ku bubwe. Eby’okuddamu byali byaawukanayawukana, era oluusi endowooza y’omu ku bo yali ya njawulo ku ya munne. N’endowooza zaabwe ku Katonda zaali tezirina maanyi, nga zikontana, era nga tezimatiza.
Katonda ayinza atya okukomererwa ku musaalaba n’afuna okunakuwazibwa? Bwentyo nnakiraba nti mu Bukristaayo mulimu okutaputa kungi.
Bwe nnali nsoma ku yunivasite, nnakolera ku ssundiro ly’amafuta. Omu ku bannange yali Muhindu Omuyindi. Bwentyo namubuuza emboozi ya katonda w’Abahindu ow’omutwe gw’enjovu eri etya? Tekyasoboka kulonda mu kifo kye katonda alina omutwe gw’empologoma okugeza?! Na bweekityo enzikiriza y’Ekihindu teyansikiriza.
Nnasigala nnoonyereza ku madiini amalala. Ekibuuzo kyange ku mulundi guno kyali kikwata ku ddiini y’Abayudaaya. Oluvannyuma lw’okunoonyereza okumala ebbanga eddene, nnasanga endowooza gye baalina ku Katonda ng’ekontana g’okukontana kwa bakabona mu Bukristaayo. N’olwekyo mu ddiini y’Ekiyudaaya kye nnali nnoonya saakisangamu.
Oluvannyuma nnanoonyereza ku nzikiriza ya Buddha ne ndowooza nti eno y’eyo gye nnandironze. Bwe nnagenda mu maaso n’okunoonyereza, nnakizuula nti eno si ddiini wabula engeri esikiriza okuyamba omuntu okubeerawo.
Olunaku lumu, omu ku mikwano gyange yambuuza ku madiini ge nnali nnoonyezzaako. Nnamugamba nti: Nnanoonyerezza ku nzikiriza y’Ekikristaayo, ey’Ekihindu, ey’Ekiyudaaya, n’eya Buddha. Yambuuza nti: Ate Obusiraamu? Namugamba nti, “Sijja kubuuza ku Busiraamu bwabwe.” Kiki ekindeetera okugenda mu ddiini yaabwe?
Naye nga wayiseewo akaseera, neesanga nga nnyingidde omuzikiti nga siggyeemu ngatto, nga mpitira ku kyaaliiro ky’okusaalirako. Kata nninnye ku mutwe gw’omu ku bantu abaali bavunnama. Oluvannyuma nendaba sheikh ng’atambula ajja jendi ng’amweenya. Yagamba nti: Nkwagaliza olunaku olulungi munnange. Oli otya?
Oluvannyuma lw’okusembeza kuno okulungi okuva ewa Sheikh Yandeetera okumubuuza. Nnali nnina ebibuuzo byange bye nnabuuza mu kusooka. Ekyaasinga okunneewuunyisa kwe kuba nti bwe nnababuuza nga, tebaddangamu mangu. Baali bakutte Qur’an nga bang’amba nti: Some wano muganda waffe. Nafuna okuddibwaamu ne bwennali nga mbuuza ebibuuzo ebizibu bitya. Bwewaayitawo sabbiiti bbiri, nnagamba omu ku Basiraamu nga mmaze okumubuuza ekibuuzo nti: Lwaki tompa ndowooza yo ng’omuntu? Yang’amba nti: Ssiyinza kuba na ndowooza yange bwe twoogera ku kigambo kya Katonda. Kino kyankwaatako nnyo.
Oluvannyuma natwala kkopi ya Qur’an eka ne ntandika okugisoma nenkizuula nti tekyali ng’okujisoma nga emboozi. Wabula nnali nsoma ekintu ekindagira n’okunnuŋŋamya
Ekiro kimu natuula nga ndowooza ku bujulizi obw’ensonga y’ensozi okubeera ebikondo byensi. Oba okukula kw’omwana ali mu lubuto lwa nnyina. Ne ŋŋamba nti: Ayi Katonda, nnuŋŋamya Embeera yange yakyukiraa ddala. Nawulira nti Katonda yali annuŋŋamizza kubanga obutonde buno, n’obulungi bwabwo n’engeri jebwatondebwaamu ennene, tekyandisobose kutondebwa nga tewali Mutonzi. Bwentyo nasalawo mbeere Musiraamu ne njatula Shahada (enkakasa) ebbiri.
Oluvannyuma lw’okuzaatula, okutya n’okubuusabuusa kwonna byava mu birowoozo byange. Enkola ennungi gye nnayisaamu taata wange yamulaga nti amazima g’Obusiraamu gaawukana ku bulimba obubusaasaanyizibwa ku bwo. Bwatyo yansaba mmuwe Qur’an.

Kigendererwa ki eky’okubeera omulamu? - Emboozi y’omuntu atakkiririza mu Katonda
Scan QR Code | Use a QR Code Scanner to fast download directly to your mobile device