Amazaalibwa ga Nabbi
MahadSunnah
Ngamba nti okukuza amazaalibwa ga Nabbi tekimanyiddwa
bakulembela abatuukirivu, ebyo ba Khalifa abalung'amibwa
obulungi bye baakola, wadde ne ba Swahaaba, wadde abo
abaabagoberera mu mutima omulungi, wadde ba Imam
b'Abasiraamu oluvannyuma lwabwe.
Wano tubuuza nti: Tusinga okussa ekitiibwa eri
Omubaka, emikisa n'emirembe bibeere ku yye,
okusinga abantu bano? Muddemu abange, nedda.
Twagala Omubaka, emikisa n'emirembe
bibeere ku yye, okusinga abantu bano? Nedda.
Bwe kiba bwe kityo, olwo tulina okugoberera
ekyokulabirako kyabwe so si kujaguza
Mazaalibwa ga Nabbi kubanga kizuule mu ddiini.
Sarhaan.com الشيخ العثيمين رحمه الله :اللغة اللوغندية Mahadsunnah.com Luganda